munnayuganda eyatomerwa emotoka naafa e dubai ab’enganda babuliddwa ssente ezireeta omulambo

Kati enaku ziweze 26 bukyanga Munnayuganda Mariam Kiryokya afiira mu kabenje e Dubai wabula nga abantu be babuliddwa ensimbi ezikomyawo omulambo ggwe ku butaka e Naguru mu Uganda.

Olivia Nabwosa Nantale nga no ye muto wa Mariam aamba nti atambudde ebitongole bya Gavumenti byonna mu Dubai nga ayagala ayambibwe okukomyawo omulambo ggwa Muganda we wabula nga mpaawo kuyambibwa kwafunye. Ono agamba nti yafuna buli mpapula ezetaagisa wabula ng’ensimbi zaatalina. Ono agamba nti Muganda we yali akola bwayaaya mu maka agamu wabula nga sibetegefu kuyamba nga bagamba balina okulinda Insurance ekiyinza okutwala emyezi egiwerako sinakindi omwaka.

Olivia 29, nga alongoosa ku ssemoero erimu mu Ajman agamba nti omulambo ggwa Mariam guli mu Ggwanika ly’eddwaliro lya Al Qasimia mu Sharjah. Mariam 32, yatomerwa motoka ku luguudo lwe Al Ittihad nga 29-December-2018 era nga ne Poliisi y’e Sharjah yakikakasa. Poliisi egamba nti Ddereeva w’emmotoka eyakoona Mariam yakwatibwa era nga alinda kuvunaanibwa.

Mariam nga ono namwandu yalese abaana 6 nga balabirirwa muto we Saudah.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Emibiri gy’abagenzi Col. Abiriga ne Saidi Butele gituusiddwa ku Gaddafi Mosque