Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing Simba FM Live

Munnamawulire akubiddwa mizibu

July 28, 2018 · Mubiru Ali

William Mutyaba munnamawulire kigambibwa yakubiddwa abayizi ba St. Augustine College kayunga Wakiso ku biragiro by’omusomesa. Kigambibwa nti ono yali agenze ku ssomero lino ku ssaawa ssatu ez’ekiro okukuba ebifaananyi oluvannyuma lw’omuliro ogwali gukutte ekisulo ky’abayizi.

Mutyaba agamba nti omusomesa amanyiddwa nga Akena yalagira abayizi bamukube era bweyagezaako okudduka abakuumi nebagalawo gate. Wabula oluvannyuma yataasibwa omukuumi omu eyagamba abayizi nti baali bamukubye nnyo anatera okufa oluvannyuma lw’okumukubira essaawa nnamba.

Munnamawulire agamba nti Poliisi temuyambye kuba bagaanye okumubuulira webatuuse ku musango ggwe kuba tewali gwebaali bayise ku Poliisi.