Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Munnamawulire akubiddwa e Sheema

August 3, 2018 · Mubiru Ali

Munnamawulire Ddamba Wiziri aguddewo emisango okuli assault, robbery ne malicious damage ku bakozi b’ekitongole eky’obwannakyewa ekya Integrated Community Based Initiatives (ICOBI).

Ku File eri ku Sheema Police Station SD Ref 49/01/08/2018, Ddamba agamba nti bakozi ba ICOBI bamukuba ne batwala camera n’essimu ye nga 30 – July – 2018 bweyali asaka amawulire g’abantu abaali bekalakaasa nga bawakanya ebyava mu kulonda kwa Sheema Municipality okwawangulwa Elioda Tumwesigye ng’omubaka.

Oluvannyuma lw’okukubwa Ddamba yaddusibwa mu ddwaliro lya Mayanja Memorial Hospital e Mbarara gy’abadde afunira obujanjabi era nga yasiibuddwa olunaku lw’eggulo. Agamba nti abamukuba bali bakulemberwamu Godwin Arikwera eyamulagira okuwaayo Camera ye oba okutibwa nga agaanye. Agamba nti Alikwera yalina ejjambiya ate nga abalala baalina amayinja nga bano kwaliko  Sheema District Community Liaison Officer Coleb Twesigye, Muganda wa RDC w’e Sheema Robert Bijuuka, Charles Tashorora, n’abakozi ba ICOBI.

Poliisi y’e Sheema egamba nti ensawo ne camera ya Ddamba ebirina ebiterese bulungi. Wabula Robert Ssempala akulira ekibiina ekirwanirira eddembe lya Bannamawulire agamba nti yagaanye Ddamba okubikima Poliisi esooke ennyonyole engeri gyeyabifunyeemu.

Ddamba agamba nti alumizibwa omutwe wamu n’obulago nga byava kukutugibwa.