Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 263 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Munnamateeka Nicholas Opiyo asindikiddwa ku alimanda

December 24, 2020 · Mubiru Ali

Munnamateeka era omulwanirizi w’eddembe Nicholas Opiyo n’abalala 4 basimbiddwa mu maaso g’Omulamuzi wa kkooti y’e Nakawa navunaanibwa omusango gwa ‘Money Laundering’. Kkooti egamba nti nga 8-October-2020, nga akozesa ettabi lya Bbanka ya ABSA erya Garden City yafuna ssente emitwalo gya Ddoola 34 nga ziyita ku akawunti nnamba 6004078045 eri mu mannya ga Chapter Four Uganda, ng’akimanyi bulungi nti ensimbi zino zaava mu bikolwa ebimenya amateeka. Asindikiddwa ku alimanda ne fayiro ye nesindikibwa mu Kkooti evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi.