Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 152 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM
News

Munnamateeka Kiconco ayitiddwa annyonyole ku buwumbi 39

August 11, 2023 · Mubiru Ali

Ababaka abatuula ku Kakiiko ka COSASE mu Palamenti olunaku olwaleero bayise Munnamateeka Patrick Kiconco agambibwa okuba nti yaweebwa obuwumbi 39 ekitongole kya NAADS okuzisasula abalimi. Kigambibwa nti Kiconco yaweebwa ensimbi obuwumbi 39 nga yita mu Pathway Advocates nga yali wakuzisasula balimi bamajaani abaali batudde NAADS mu Kkooti oluvannyuma lwokugaana okugula endokwa zaabwe so nga baalina endaŋŋaano gyebaali bateekako omukono.
Kiconco okuyitibwa kidiridde okulemererwa okulabikako mu Kakiiko nga agamba nti yabadde alina okukiikirira omuntu we mu Musango mu Kkooti ya Buganda Road kyavudde talabikako.