Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 296 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Munnamaggye awambye ettaka ly’e Ggombolola e Kayunga

December 30, 2021 · Mubiru Ali
Abakulembeze nga begatiddwako abatuuze okuva mu Gombolola y’e Kayunga mu Disitulikiti y’e Kayunga bekalakasizza mu ngeri y’emirembe nga bawakanya ekya munnamaggye wa UPDF Brig. James Kinaalwa okusalawo okuzimba ku ttaka ly’e Gombolola eno ne lyaanyi. Bano nga bakulembeddwamu Ssentebe w’e Ggombolola eno Mw Kampi Joshua, Sipiika Ssebaana Steven kko n’omumumyuuka wa Ssentebe Kanaabi Jimmy bavumiridde ekikolwa kyebayise ekyobujoozi eky’okuzimba ekizimbe ku ttaka lyabwe lino eririraanye ofiisi za Kayunga Town Council.
Bano bagamba nti Brig. Kinaalwa bagamba nti yaweebwa olukusa okuzimba ku ttaka lino ekitongole kya Buganda Land Board kyabulimba.
Brig. Kinaalwa agamba nti eggombolola eno ey’e Kayunga terina bwannannyini ku ttaka lino era agamba nti n’ekyapa kyenyini ekiraga obwannannyinni bano tebakirina.