munnakisinde kya people power agaaniddwa okwesimbawo mu yunivasite e gulu

Munnakisende kya People Power Our Power Imuran Ntambazi Java 21, nga ono muyizi mu ssetendekero ya Gulu agaaniddwa okwewandiisa ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’okulonda mu Yunivasite eno. Ono nga ali mumwaka gwe ogw’okubiri nga asoma Bachelor of Science in Computer Science kigambibwa nti yabadde asazeewo okwesimbawo nga ayita mu kisinde kya People power ekikulemberwa Bobi Wine bweyagenze okwewandiisa Returning Officer Edmond Okello yamugaanye okwesimbawo nga agamba nti yabadde tatuukirizza bisaanyizo.
Okello agamba nti Java yagaaniddwa okuwandiisibwa kukuwabulwa kwa Dean of Students nga agamba nti ono yabadde amenye etteeka lya Yunivasita eritakiriza bibiina byabufuzi mukwesimbawo.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
abavuzi ba takisi batabukidde rdc mpiima