Munnakibiina Kya NRM Agaliddwa Lwa Bbanja

Omubaka wa Upper Madi County nga Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Isaac Etuka Joakino yasindikiddwa Registrar wa Kkooti ejjulirwamu Agnes Nkonge ku meere e Luzira lwakulemererwa kusasula obukadde 21 nga zali zakuliyirira eryali omubaka wa Madi Arumadri John Drazu munnakibiina kya Forum for Democratic Change eyawakanya okuwangula kwe mu kalulu ka 2016.
Ekiragiro ekyaweerezeddwa abakulira ekkomera kiraga nti ono alina okusibwa ebbanga eritasukka myezi 6.
Ensimbi zino zava mu musango ogwamuwawabirwa Arumadri, omulamuzi John Keitirima nagamba nti yali yawandiisibwa mu butuufu wabula Arumadri naddamu najulira, Abalamuzi abasatu abaali mu musango guno okwali Remmy Kasule, Richard Buteera ne Alfonse Owiny Dollo nebasazaamu ensala ya Keitirima nebalagira Etuka asasule Arumadri ensimbi zeyakozesa mukujulira.
Wadde nga akalulu kaddibwamu mu 2017 Etuka yawangula.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Kenzo akiikiridde Yuganda e Senegal