Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina? News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 501 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Munisipaali y’e Mubende egenda kuyoola abaana abataayaayiza ku nguudo

January 4, 2018 · Mubiru Ali

Munisipaali y'e Mubende etongozza ekikwekweto ky'okuyoola abaana abataayaayiza ku nguudo z'ekibuga Mubende. 

Mmeeya wa Munisipiaali eno, Ssekiziyivu Innocent ategeezezza nti kino bakikoze olw'baana abasusse obungi mu kibuga abatembeeya ebintu omuli;  Ennyaanya, Entula, Obutungulu wamu n'obutunda mu ngeri emenya amateeka.

Ssekiziyivu annyonnyodde nti abaana abasinze obungi babinikibwa  n'e bintu ebitagya mu myaka gyabwe okubitembeya ekintu ekityoboola eddembe ly'abaana bano. 

Ssekiziyivu agasseeko nti embeera eno eviiriddeko n'abaana bangi okutomerwa ebidduka nebalemala oba  okufiirwa obulamu bwabwe bbo ng'abakulembeze kye batasobola kugumiikiriza.