Breaking
News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 360 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Muleme kutuzza mu nsobi ezaaliwo – Pulezidenti Museveni

March 26, 2022 · Mubiru Ali

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Nakigenderera obutoogera ku Jacob Oulanyah nga nindirira akaseera akatuufu, wabula bwewazzeewo abaagala ekifo kye okukirekera Abachooli awo wenviiriddeyo nti tetusobola kukola nsobi ng’eyo nga tulaba. Twemwetunuulira nga Bachooli kyokka oba ablala, mwetunuulire nga Bannayuganda. Oulanyah mu bulamu yagezaako nnyo okugatta abantu mu mambuka ga Yuganda; Abalango, Abachooli, aba West Nile n’abantu abalala. Kino yakikola nokusinga ffe aba National Resistance Movement – NRM bwetukikoze. Tusaana tusiime era tuse ekitiibwa mumukululo gwalese nga twewala okukola ensobi.”