Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 487 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Mulekerawo okutusaba ssente – Bishop Ssemwogerere

June 17, 2019 · Mubiru Ali

Omusumba w’e Ssazza ly’e Kasana – Luweero Bishop Paul Ssemwogerere agugumbudde Abakulisitu abalemeddwa okukola nebadda mukusabiriza obusabiriza ate nga ekisinga okwenyamizza n’okuswaza basabiriza ba Kabona ba Katonda. Bino Bishop ebyogeredde ku Kigo ly’e Mulajje mu Ssazza ly’e Bamunanika mu Luweero district bwabadde akulembeddemu misa ekigo kino bwekibadde kijjaguza okuweza emyaka 105 bukya kitandikibwawo mu 1914.
Bishop era agasse n’emigogo gy’abagole 13 naawa n’abaana 200 sacrament ya Confirmation era nabasaba okunywerera ku Kulisitu.