Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 256 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

mulekerawo okusuulirira bakyala bammwe – kabanda

February 12, 2019 · Mubiru Ali
Omubaka w’e Masaka mu Palamenti, Mary Babirye Kabanda agugumbudde abasajja abeegumbulidde omuze gw’okusuulirira bakyala baabwe ne babalekera obuvunaanyizibwa bw’okwerabirira n’abaana baabwe.
Annyonnyodde nti kino yakizuulidde ku bungi bw’abakyala abamwetayirira okubayambirako abaana ne bamutegeeza nti abasajja olubazaalamu nga babasuulawo.
Bino omubaka Kabanda yabyatulidde ku mukolo gwe yakwasirizza abaana bbasale mu masomero agenjawulo.
Muno mulimu aba yunivasite, pulayimale, siniya, amatendekero n’abasoma Obusaseredooti ng’obuyambi abuyisa mu kibiina kye ekya Babirye Kabanda Development Foundation.
Muky. Kabanda ne bba Charles Kabanda baategeezezza abazadde nti obuvunaanyizibwa bw’okulabirira abaana bwa babiri nga babakuliza mu mpisa bafuuke aboomugaso mu nsi.