Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 746 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

muleete ebiwandiiko ebiraga nti mwagula ebintu bya bayindi

December 20, 2018 · Mubiru Ali

Omubaka wa Gavumenti mu Disitulikiti y’e Masaka Herman Ssentongo asabye Bannamasaka bonna abali mubizimbe bya Bayindi saako nettaka okugenda mu lukiiko nga 17 – Jan – 2019 n’ebiwandiiko byabwe ebikakasa nti ebizimbe ebyo baabifuna mubutuufu.

RDC okwogera bino asinzidde mulukiiko olubadde ku kizimbe kya Mayor mu kibuga Masaka nga olukiiko luno lwetabiddwamu abakulira eby’okwerinda, abakulira akakiiko k’ettaka saako ne Bannamaska .

Bino webigidde nga omugagga Lwasa Emmanuel ali mukusika muguwa n’abakyala ba Disitulikiti y’e Masaka nga ayagala okutwala ekizimbe kyaabwe ekisangibwa mu kibuga Masaka wakati.

Omugagga Lwasa agamba nti ekizimbe kino yakigula ku Masaka Municipal Council abakyala kyebawakanya nga bagamba nti ekizimbe kyabwe bakigula ku Bayindi.