Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ensi yonna ekaaba naye mmwe muwoggana musaba nga Bakafiiri! Mubafunamu ssente News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alambuddeko ku Emmanuel Kalidinaali Wamala, mu ttuntu lya leero, mu maka ge e Nsambya. News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana
ON NOW Ekiggunda
Now Playing · 50 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Mulamuzi nnyamba Isiko akyampeereza obubaka – Hon. Rwabwogo

November 24, 2018 · Mubiru Ali

Omubaka Sylvia Rwabwogo asabye kkooti emukkirize aleete emisango emipya ku muvubuka Brain Isiko eyamukwana. Rwabwogo ng’ayita mu looya we, Radislus Rwakafuzi ategeezezza kkooti ya Buganda Road nti Isiko amulemeddeko era akyamukwana.

Rwabwogo mu kiwandiiko ky’aleese ategeezezza omulamuzi Stella Amabirisi nti n’eggulo limu Isiko yamukubidde amukwana ekintu ekyamumazeeko emirembe. Ategeezezza kkooti nti alina n’abapoliisi abapya babiri b’agenda okukozesa ng’abajulizi n’asaba emisango emipya Isiko gimuggulweko.

Kyokka looya wa Isiko,  Ramathan Waisswa okusaba kwa Rwabwogo akusimbidde ekkuuli n’ategeeza kkooti nti kimenya mateeka okuleeta emisango emipya ku Isiko. Agambye nti Kkooti Enkulu bwe yali eragira omusango gwa Isiko guddemu okuwulirwa, yalagira nti balina kukozesa bujulizi bukadde nga kati okuleeta obupya oludda oluwaabi lubeera lugezaako kubikka bituli ebyabalema ku mulundi ogwayita.

Omulamuzi omusango agwongezzaayo okutuusa ku ssaawa 8 awe ensala ye ku nsonga eno.