Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 398 listening Simba FM Live

Mukyala w’Omukulembeze wa China atonedde Yuganda Mask

July 14, 2020 · Mubiru Ali

Mukyala w’Omukulembeze w’Eggwanga era nga ye Minisita w’ebyenjigiriza Janet Kataaha Museveni n’emizannyo akwasiddwa ebintu ebyeyambisibwa mu bujanjabi nga bino byaweereddwayo Mukyala w’Omukulembeze w’Eggwanga lya China Prof. Peng Liyuan nga ayita mu kibiina ekitaba Bakyala babakulembeze b’amawanga agali ku Lukalu lwa Afirika ekirwanyisa Akawuka akaleeta mukenenya ekya Organisation of African First Ladies Against HIV/AIDS โ€“ Uganda (OAFLA).
Obuyambi buno bwakugenda eri abakyala, abaana wamu n’abavubuka wamu n’abantu abalala abatalina mwasirizi okubayambako okulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19.
Muno mulimu medical mask 18000, Forehead Thermometers 120 (temperature guns) nga bino bimukwasiddwa omubaka wa China mu Yuganda HE. Zheng Zhuqiang, ku State House e Nakasero.