Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 278 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

mukyala wa sk mbuga azziddwayo ku mmeere

March 13, 2019 · Mubiru Ali
Omulamuzi Pamela Lamunu owa Kkooti evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi agobye okusaba kwa Angela Chebet, mukyala wa Sulaiman Kabangala aka Sk mbuga okwokweyimirirwa.
Chebet avunaanibwa emisango ebiri okuli ogw’okutambuza ensimbi ezirowoozebwa okuba nga tezivudde mu makubo matuufu wamu n’okufuna ensimbi nga yeyita kyatali nga zisoba mu buwumbi 23.
Chebet ne munne Munnansi wa Sweden Heinsoo Sten kigambibwa nti babba Kkampuni ya Swenden Erinar Matsson AB, bwatyo naweereza ensimbi ku Account ye eri Bbanka ya Barclays.
Omulamuzi agamba nti ono yali aweereddwako bail natalabikako era nasinziirawo okugimumma.