Breaking
News: Egimu ku mirimu gyOmubaka wa Palamenti egirambikibwa Ssemateeka kwekuli okukiirira abantu, okuyisa amateeka, okulondoola wamu nokutematema News: Omubiri gweyali omukozi wa Radio Simba Ffemwe Mweffe Alex Edward Ssaava Nsubuga Kigoonya Mukulu amanyiddwa ennyo nga Alex Mukulu aka Kalekyeezi News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 364 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Mukuume emirembe, muddeyo mukole – Archbishop Kazimba Mugalu

January 18, 2021 · Mubiru Ali
Archbishop Dr Samuel Stephen Kaziimba Mugalu avuddeyo nasaba abo bonna abalina okwemulugunya ku kukulonda naddala abawanguddwa naye nga bakiwakanya okuddukira mu Kkooti.
Yasabye Bannayuganda okukuuma eddembe, nga abalina okwemulugunya basobola okugenda mu Kkooti oba okubikwasa Mukama Katonda alamule.
Yasabye Bannayuganda era okusonyiwangana baddemu bakole emirimu gyabwe, abawanguddwa yabagumizza nti eno si ye nkomerero.
Abawangudde yabasabye obutawoolera ggwanga eri abalonzi abatabalonze era babakolere nga tebafudde ku bibiina byabwe oba enjawulo mu maddiini.
Yasabye Gavumenti okulongoosa amasomero agali mu mbeera embi n’okwongeza omusaala gwabasomesa, amalwaliro amalungi agalimu eddagala n’abasawo abasasulwa obulungi.