Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Mukuume eddembe mu kulonda – IGP Ochola

July 24, 2018 · Mubiru Ali

IGP J.M Okoth-Ochola (ESQ) awadde ebiragiro ebipya nga eggwanga lyetegekera okulonda mu bitundu by’eggwanga eby’ejanwulo. Avuddeyo nagamba nti week eno yonna egenda kubaamu okulonda nabwekityo Poliisi wamu n’abantu babulijjo balina okubeera obulindaala.

Yanokoddeyo emivuyo egyetobese mukaseera kokunoonya akalulu mu bitundu eby’enjawulo omuli Bugiri, Njeru ne Sheema nagamba nti okunoonyereza kugenda mu maaso era nga abanazuulibwa nti bebavaako obuzibu bakusimbibwa mu mbuga z’amateeka.

Yasabye abaduumira Poliisi mu bitundu eby’enjawulo okusooka okusoma embeera n’oluvannyuma basindike abasirikale okukola ekyetaagisa.

Yagambye nti afunye okwemulugunya okuva mubatuuze nti babakwata awatali musango, okubatiisatiisa wamu n’okubatulugunya, nagamba nti bwekiba nga kyatuukawo balina okukikomya. Yasabye abaduumizi ba Poliisi mu bitundu eby’enjawulo okufaayo okulaba nti bawa abasirikale ebiragiro ebituufu naddala abo abagenda okukuuma obutebenkevu mu kulonda.