Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
ON NOW Ekiggunda
Now Playing · 238 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Mukuume Bannayuganda so ssi muntu ssekinoomu – Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine

July 4, 2018 · Mubiru Ali

Omubaka wa Kyadondo East  Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) agaanye ekya Poliisi okumuwa obukuumi obw’enjawulo oluvannyuma lwa ye n’abakulembeze abalala ab’oludda oluvuganya Gavumenti okutiisibwatiisibwa okuttibwa ku mikutu gya Social media egyenjawulo.

Kino kyaletedde IGP Martin Okoth Ochola okulagira Director wa CID okutandika okukola okunoonyereza ku bino, era nti n’obukuumi bwabano okwongerwamu.

Ku bano kuliko Dr. Kizza Besigye, Robert Kyagulanyi ne Lord Mayor wa Kampala Elias Lukwago eyawandiikira IGP ku nsonga eno.

Wabula Kyagulanyi agamba nti ebitongole by’ebyokwerinda bisaanye kunywezebwa mu ggwanga lyonna okukuuma Bannayuganda so ssi muntu ssekinoomu.