Breaking
News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 268 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Mukulaakulanye ettaka mu kifo ky’okulitunda -Jajja w’Obuyisiraamu

January 9, 2017 · Mubiru Ali

Jajja w’obuyisiraamu Omulangira Kassim Nakibinge akalaatidde abayisiraamu mu ggwanga okukulaakulanya ettaka ly’obuyisiraamu mu kifo ky’okulitunda kubanga kyekinaaleeta enkulaakulana.

Omulangira bino abyogeredde mu bayisiraamu b’e Naggulu Kiwalimu era bano n’abasaba okukuuma obutiribiri ettaka okuli omuzikiti gwabwe n’okulaba nga mpaawo muntu yenna yeetantala kulitunda.

Agamba nti tekyetaagisa bayisiraamu kulwanagana wabula kyetaagisa okubaawo emirembe ate n’okukuuma ebintu by’obuyisiraamu.

Jajja w’obuyisiraamu ayongedde n’alaajanira abayisiraamu okusabira eggwanga lyattu Katonda alitaase ku kyeya ekikutte wansi ne waggulu.

Ye ayaliko Meeya w’ekibuga ekikulu, Kampala Haji Nasser Ssebaggala asabye abayisiraamu okulaba nga beenyigira mu mikolo egifaanana bwegiti kubanga gibayamba okubaako byebayiga.