Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 241 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

Mukula ne Kiwanda bali ttale!

August 28, 2025 · Mubiru Ali
Ababadde bavuganya ku kifo kyo mumyuka wa Ssentebe wa National Resistance Movement – NRM mu Buganda basatu bavudde mu lwokaano ku ssaawa esembayo, nebalekamu Haruna Kasolo Kyeyune ne Moses Kalangwa Kaliisa.
Abavudde mu lwokaano kuliko; Godfrey Kiwanda Ssuubi ngono yabadde mu kifo kino, Hakim Kyeswa kko ne Joseph Ssewava.
Bano mukwogera kwabwe bakakasizza nga okuva mu lwokaano bwebakikoze olwobulungi bw’Ekibiina ne nkolagana eyawamu, era bonna obuwagizi bwabwe babwolekezza Haruna Kasolo Kyeyune.
Haruna Kasolo asiimye banne bano abasazeewo okudda emabega we ,era nga tannagenda mu kalulu abasuubizza obutabaswaza singa aba awangudde akalulu kano.
Mungeri yeemu n’amyuka Ssentebe wa NRM mu Buvanjuba Captain Michael Mukula avudde mu lwokaano ku ssaawa esembayo nadda emabega wamunne bwebabadde ku mbiranye Calvin David Echodu ngono olwokaano alusigaddemu ne Mariam Naigaga.
Bya Barbara Nabukenya
#ffemmwemmweffe