Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 194 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

mukomye okutwalira amateeka mu ngalo – Fr. Kibuuka

January 7, 2019 · Mubiru Ali

REV. FR. John Kibuuka Bossa nga yakulira Abasodokisi e Luweero yalabudde Bananyuganda naddala Abakulisitaayo okukomya omuze gw’okutwalira amateeka mu ngalo kubanga si kirungi okwetaba mu kuggyawo obulamu bw’abantu.
Bino yabyogeredde mu mmisa gyeyayimbye mu kiggo ky’abasodokisi ekya Anoonya Orthodox Centre e Ddegeya mu Ggombolola y’e Kalagala e Luweero n’agamba nti n’amateeka g’eggwanga tegakikkiriza kino.
Oluvanyuma lwa mmisa wabaddewo embaga y’okutukuza amazzi ng’akabonero k’okujjukirirako okubatizibwa kwa Yesu bwatyo n’akubiriza Abakristu okwewala okuguzibwa amazzi ng’abantu bagamba nti gamukisa kyokka nga benoonyeza nsimbi.
Abakkiriza betwalidde ku mazzi gano agatukuziddwa nga basabiddwa okugakozesa obulungi okusobola okubayamba mu bulamu bw’omubiri n’omwoyo