Breaking
News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe.
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 764 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Mukomye okukwatira abantu mu motoka ezitaliiko nnamba – DIGP Maj. Gen. Lokech

January 5, 2021 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omuduumizi wa Uganda Police Force DIGP Maj. Gen. Paul Lokech, avuddeyo nalagira ttiimu z’ebyebyokwerinda zonna okulekerawo okukozesa emotoka ezibikiddwa ennamba oba ezitalina nnamba mu bikwekweto byokukwata abamenyi b’amateeka.
Kino wekigidde nga waliwo emotoka ezitalina nnamba ekika kya Toyota Hiace ezimanyiddwa nga drone ezikozesebwa okulumba amaka ne bizineesi zaabo abalowoozebwa okuba nga bawagira oludda oluvuganya Gavumenti.
Omwogezi wa Poliisi CP Fred Enanga yagambye olunaku lweggulo nti Maj. Gen. Lokech yalagidde nti ebikwekweto bino birina okugoberera ebiragiro ebyateekebwawo okuyitamu okukwata omuntu nti era nabo abakozesa emotoka ezitaliiko nnamba oba ezibikiddwa balina okukikomya bunnambiro.