Breaking
News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026 News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 390 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Mukolere ku ttaka lyammwe okwewala okulibba- Minisita Nabakooba

November 27, 2023 · Mubiru Ali
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba nokuteekerateekera ebibuga Hon. Judith Nabakooba avuddeyo navumirira enkayana zettaka ezisusse mu benganda mu Greater Mubende nga kiva ku balumbagana bebaba bagabira edda ettaka nebatandika okubatiisatiisa.
Ono yategeezezza nti tekikomye mu bantu naye kituuse ne mu Kkanisa wabula nategeeza nti Gavumenti ekola ekisoboka okukikomya.
Minisita yasabye abantu okukozesa ettaka lyabwe kuba buli bweribeerawo nga teririiko kintu kisikiriza abalinyaga.
Minisita yawadde ekyokulabirako kya St Paul Kibubula sub-parish esangibwa mu Busunju Parish wansi wa Kiyinda-Mityana, ettaka lyayo eryatwalibwa oluvannyuma lweyagiriwa okufa Abafamire nebaryeddiza. Eno yaggalwa omwaka oguwedde nga bwebagonjoola ensonga eno.
Bino yabyogeredde ku mukolo Kiyinda Mityana Diocese kweyajagulizza okuweza emyaka 42.