Mukole nnyo okutumbula obulamu bwammwe – Kattikiro Mayiga

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agamba nti
wakati nga Buganda yetegekera okukuza ebikujjuko eby’emyaka 25 nga
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutwebi II atudde ku nnamulondo yaba Jjajaabe kyandibadde kirungi nga buli muntu abeerako n’ekintu kyamaanyi kyakola okusobola okukyuusa obulamu ne mbeera mubyenfuna mu makaage nga kijja kumuyamba okutumbula obulamu bwe wamu n’abaana be.

Kamalabyonna asinzidde mu Ggomboloola ya Ssaabagabo Ssekanyonyi mu saza lya Beene ery’e Ssingo bwabadde alambula abalimi b’ekirime eky’emwaanyi wansi w’enkola emanyiddwa nga ‘MWAANYI TERIIMBA” agambye nti wakati nga abantu ba Ssaabasajja bali mu bikujjuko bino babeereko ebintu byebakola eby’ekijjukizo ebiyinza okukyuusa obulamu bwabwe.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
Bobi Wine atwaliddwa ku Poliisi e Naggalama