Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 435 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Muka Kitatta atutte Kayihura ne Gen. Muhoozi mu kkooti

January 25, 2018 · Mubiru Ali

Mukyala wa Abdullah Kitatta – Omuyima w'ekibiina kya Bodaboda 2010 akubye Ssaabaduumizi wa Police General Kale Kayihura wamu n'omuduumizi w'amagye g'eggwanga , General David Muhoozi mu kkooti enkulu ng'ayagala kkooti eragire bano okuleeta bba mu kkooti oba mufu oba mulamu avunaanibwe.

Sumayiya Ninsiima nga mutuuze mu zzooni ya Masannyalaze ekisangibwa mu Divizoni y'e Lubaga  agamba nti tamanyi mayitire ga bba nga kati ennaku ttaano ziyiseewo okuva lweyakwatibwa aba Police n'amagye okuva ku yafeesi ye esangibwa e Wakaliga  – Nateete 

Ninsiima agamba nti okukwatibwa kwa bba yakumanyira mu mawulire nga omumyuka w'omwogezi wa UPDF Lt. Col. Deo Akiiki akakasa nti Kitatta  akuumirwa Kireka era n'atuukayo abaserikale nebamugamba yeeyongereyo e Mbuya kuba baali tebamulina awo, agamba nti ate bweyatuuseeyo ne puliida we Joseph Kiryowa baabagambaye kuwandiika mabaluwa agasaba okusisinkana  Omuduumizi w'amagye, akulira CMI wamu n'akulira eby'amateeka mu UPDF

Nabwekityo Ninsiima ayagala kkooti eyingire mu nsonga eno eragire bba Kitatta aleetebwe mu kkooti aguulweko emisango bwegiba nga weegiri egimuvunaanwa .