Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 91 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Mujje ebyobufuzi mu mbeera z’abaana – Hon. Janet Museveni

October 11, 2021 · Mubiru Ali
Minisita avunaanyizibwa kubyenjigiriza n’emizannyo era mukyala w’omukulembeze w’eggwanga Janet Kataaha Museveni avuddeyo ku ky’abaana okufuna embuto; “Kantandika nokukaatiriza nti abaana ate tebasobola kubeera ba Maama. Bwendaba ekiriwo kati ku mwana omuwala, amaziga gankulukuta ku mutima, nensigaza ebiwundu ku mutima ebitagambika.
Ekizibu kino kyeyongedde olwamasomero okuggalwa ekiseera ekiwanvu tewali kubuuza. Wabula nfuna okusoberwa nenebuuza nti lwaki abaana tebakyasobola kukuumibwa awaka! Kiki ekyatuuka ku famire?
Tusale amagezi agayinza okutuyamba okuvvuunuka ekizibu kino. Tulekerawo okuteeka ebyobufuzi mu nsonga eno kuba kyekiviiriddeko okuttatana ebiseera byabaana ebyomumaaso.
Nazikuno kibadde nti abantu okuva ebweru bebabadde batuyiiyiza butya bwetuvvuunuka ebizibu wabula ebiseera ebisinga obungi mbadde sikiriziganya nabyebatuwa.
Ekibuuzo kyange kiri nti; bwobeera nekkoona ku luguudo mwasanjala nga wagwawo obubenje bungi ogula motoka agafemulago kusomba bagudde ku bubenje oba ozuula ekizibu wekiva?