Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 161 listening Simba FM Live

Mugisha Muntu asabye Banna Uganda Baggyeko Pulezidenti Museveni mangu ddala nga bayita mu kalulu.

August 27, 2015 · Mubiru Ali

Ssenkaggale wa FDC Maj Gen. Mugisha Muntu asabye Banna Uganda okuggyako Gavumenti ya Pulezidenti Museveni amangu ddala bwebaba baagala okuganyulwa mu ssente eziva mu mafuta .

Muntu agamba nti omusimbi oguva mu mafuta ssibaakuguganyurwamu kubanga Gavumenti ejjudde ababbi abazirinze.

Bino abyogedde nga ali mu kaweefube we owokunooya obuwagizi akwatire ekibiina kye bendera y’obwa Pulezidenti mu kalulu akaggya aka 2016.

Ayongeddeko okutegeeza ba nna Busoga nti bakomye okuwagira Gavumenti ya Museveni kubanga tebalina kyebagifunyeemu emyaka gyonna.