Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 313 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
Sports

MUGENDE MUBIZANNYIRE AWALALA – RWANDA

September 19, 2021 · Mubiru Ali

Empaka za 2021 African Women’s Senior Nations Volleyball Championship teziwedde oluvannyuma lw’ekibiina kya Rwanda Volleyball Federation ne Rwanda Ministry of Sports okuziyimiriza mbagirawo.

Ekibiina ekitwala omuzannyo gwa Volleyball mu Rwanda kyawadde ttiimu zonna essaawa 24 okwamuka eggwanga.

Obuzibu bwavudde ku kibiina ekitwala omuzannyo gwa Volleyball mu nsi yonna ekya Federation Internationale de Volleyball, FIVB okugoba ttiimu ya Rwanda mu Mpaka zino oluvannyuma lwokukizuula nti eggwanga lya Rwanda lyazanyisizza Bannansi ba Brasil 4.

Rwanda yazanyisa abantu 4 nga tebatuukiriza bisaanyizo bya FIVB ne Rwanda mukwesasuza kwesazaamu empaka zino nga bagaana African Volleyball Confederation CAVB okukozesa Kigali Arena ku lwokutaano n’olwomukaaga.

#simbasportsnews