Mufti Mubajje alabudde abavubuka ku ddiini y’obuyisiraamu

Mufti wa Yuganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje asabye abayisiraamu naddala abavubuka ensangi zino obutalalambazibwa nga baleka enkola esomesebwa Quran olwo nebatandika okugunja enjigiriza mu buyisiraamu endala ekiviiriddeko abamu okukola ebikolwa ebitali birungi kyokka enga ebikolwa bino abamu babikola nga beerimbise mu mizikiti.

Mubajje asinzidde ku dduwa y’omugenzi Hajjati Mastulah Nabukaba e Bwebajja n’asaba abayisiraamu bonna okutambulira obulingi ku miramwa ebya Quran beewale okutuukibwako nga ebyo ebyabadde ku muzikiti ogwa Usafi mu Kisenyi mu Kampala.

Kigambibwa nti Omuzikiti guno Police yagulumba newabaawo okuwanyisiganya ebyasi ebyaviiramu n’abantu babiri okulugulamu obulamu nga kigambibwa nti waaliyo ebyasangibwa bikolebwa mu kifo kino ate nga bikontana n’amateeka.  nga mu byebaabasanze nabyo mwabaddemu ebijambiya, zi najjolo n’ebirala eby’obulabe.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
BANNAMATEEKA BA FAMIRE YA SSEBULIME BAAGALA MINISITA NANTABA AKEBEREBWE OMUTWE