Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Mubeere n’empisa ate mukuume ekitiibwa

August 17, 2018 · Mubiru Ali

Abasirikale ba Poliisi 23 okuva mu Poliisi ya Uganda balondeddwa okugenda mu UN Mission mu Sudan (UNMISS) basibiriddwa entanda okuva ewa Director Grace Turyagumanawe nabasaba okukuuma empisa wamu n’ekitiibwa kyabwe nga bakola emirimu gyabwe.

Abasabye okwewala okwenyigira mu mukulya enguzi, obwenzi n’ebintu ebirala ebiyinza okubateeka mu buzibu n’ensi gyebagenda okukolera.

Ye Commander waabwe Assistant Commissioner of Police John Cohen Arinaitwe yasuubizza okukulemberamu obulungi banne okusobola okutuukiriza emirimu egibatutte mu South Sudan.

Ye Emilian kayima yabakuutidde okuyiga okuwandiika ku lugendo lwabwe, era n’abasaba bawandiike ebiraamo singa biba bigenze bubi ku mirimu, okweteekerateekera nga batandikawo ebintu ebyomugaso nga okugula ettaka wadde nga abafere bangi. Bano bakumala omwaka mulamba e South Sudan nga bagenda nga 9-September-2018.