Breaking
News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 177 listening Simba FM Live

Mu myaka 25 Yuganda enaaba tekyesigama ku buyambi- Akulira URA

September 15, 2016 · Mubiru Ali

Akulira ekitongole ekiwooza ky’emisolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority , Doris Akol agamba nti mu myaka 25 Yuganda enaaba tekyesigama ku buyambi .

Akol agamba nti ekitongole kino  kyakugenda mu maaso n’okukula wamu n’okukungaanya omusolo wano na wali enkulaakulana esobole okutinta .

Okwogera bino abadde mu bikujjuko by’okujaguza emyaka 25 ekitongole gyekimaze nga kisolooza emisolo era nga bino bibadde ku kitebe ky’ekitongole ekisangibwa e Nagulu mu Kampala .

Wabula abakulembeze b’enzikiriza ez’enjawulo basabidde ekitongole kino katonda akisobozese okwongera ku bungi bw’emisolo gyekisolooza gituuke mu buse 23 mu myaka gy’ebyenfuna egiddako .