Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing · 240 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM
News

Mpuuga ne banno temujja kwezibika ssente zizimba ddwaliro buli omu muyineyine – Hon. Sarah Opendi

May 22, 2024 · Mubiru Ali

Omubaka Omukyala owa Disitulikiti y’e Tororo Sarah Opendi Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM; “Kiba kikyamu nze okutuula nensirika nga eddwaliro ddamu liweereddwa omuntu omu. Njagala mukimanye nti Minisitule y’ebyobulamu ngayeyambisa UPDF Construction Brigade bwebadde eddaabiriza amalwaliro ga Health Centre II okugasobozesa okugakuza okufuuka Health Centre III yakozesa obukadde 500 ku buli limu. Lwakiri tutuula netutunula nga ssente y’omuwi w’omusolo abonaabona okufuna ekyokulya ezikozesebwa mu bukyaamu.” Ono abadde akaatiriza ekyokunoonya emikono gy’Ababaka okusobola okujja obwesige mu ba Commissioner ba Palamenti abeewa akasiimu ka kawumbi 1 mu obukadde 700.