Breaking
News: Minisita avunaanyizibwa ku Gavumenti ezebitundu Hon. News: Obukulembeze bwa Munisipaali ye Nansana nga bakulembedwaamu Mmeeya Sserunkuuma JohnBosco basazeewo okupangisa ebimotoka bibayambe ku kukungaanya News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Ntikudde Amakula ga Kabaka leero, agamuweereddwa abantu be okuva mu Masaza, ebitongole nabantu abenjawulo.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 238 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

MPAGIDDE NE NOONYEZA NRM AKALULU NAYE TERINA KYENYAMBYE BANATERA KUNTEMAKO KUGULU

October 28, 2021 · Mubiru Ali
Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM e Kayunga basobeddwa eka ne mu kibira oluvannyuma lwa Ssaabakunzi w’ekibiina kino owa Disitulikiti y’e Kayunga okulangirira nga bwalekulidde ng’ebula ebbanga ttono nnyo akalulu ka Ssentebe wa LC5 okuddibwamu.
Bwebabadde mu lukiiko lwabakulembeze ba NRM e Kayunga olwatudde ku kitebe e Ntenjeru, Kizza Mutwalibu yewuunyisizza banne bweyavuddeyo nabategeeza nga bwalekulidde ekifo kye olwabakulembeze obutabeera berufu.
Ekyanyiizizza Kizza kwekulemesebwa omu ku bakulembeze ba NRM okwogera lwaki ekibiina kyandiddamu okuwangulwa ku kifo kya Ssentebe, nti era ensimbi z’ekibiina bwezijja e Kayunga bakulembeze banne bamusuula ettale.
Ono yawuliddwako nga ategeeza nga bwataganyuddwa mukuwagira NRM oba Pulezidenti Museveni bwatyo nategeeza nti kayegatte ku kibiina ekirala ekinamulabamu omulwamwa. RDC wa Disitulikiti y’e Kayunga Ssempala Kigozi yagezezzaako okumuwooyawooya nga buteerere.
Kizza agamba nti yafuna akabenje nganoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu namenyeka okugulu nga kati banatera nakutemako naye tafunanga buyambi kuva eri Pulezidenti yadde ekibiina kye nga kati atambulira ku miggo.
Ono yagenze ewuwe nakimayo ebyambalo bya NRM byonna byalina nabitwala nabisuula awabadde olukiiko nalinnya booda booda nagenda.
Kizza yegasse ku Joseph Ouma, eyali NRM Secretary General wa Disitulikiti y’e Kayunga eyegatta ku National Unity Platform – NUP kuntandikwa y’omwaka guno. Ouma yayabulira ekibiina nga agamba nti ekibiina kyali kyenyigira mu kugulirira abalonzi n’okubba obululu.