Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 430 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

MP n’abalala 9 bafiiridde mu kabenje ka Takisi – Jinja

March 15, 2017 · Mubiru Ali

Abadde Omubaka mu Palamenti akiikirira essaza ly’e Toroma mu Disitulikiri y’e Katakwi, Amodoi Cyrus Imaringati afiiridde  mu kabenje akagudde e Kitigoma ku luguudo olugenda e Jinja mukiro ekikeesezza leero .

Chris Obore Director avunaanyizibwa ku byempuliziganya mu Palamenti, agambye nti Omubaka Amodoi afiiridde mu kabenje akazingiddemu takisi bbiri n’emmotoka ey’ekika kya Fuso.

Akabenje kano era kafiiriddemu n’abantu abalala mwenda ate 13 nekabaleka nga bataawa.

Omugoba w’emmotoka UAW 200W nga ye Edward Francis  Mafabi ne Ssentebe wa Mbale Kampala Multiple Taxi Limited, Peter Shimiyu nga ono ye Ssabawandiisi wa Mbale District Service Commission ate ne Engineer wa Nabumali Town Council be bamu ku bafiirdde mu kabenje kano ddekabusa.

Obore agamba nti Omubaka ono okutuuka okufiira mu kabenje kano, abadde ayanguwa kugenda Katakwi nga waliyo emikolo gya Disitulikiti egya abakyala. Agamba nti Omubaka okulinnya Takisi emmotoka ye yabadde yagiwaddeyo egende ekole emirimu mu Konsituwensi ku mikolo gino.

Akabenje kano kavudde ku mmotoka Kika kya Fuso UAN 447X ebadde eva e Jinja eremeredde omugoba waayo n’eyingirira takisi bbiri,  UAW 200W ne UAL 278F.