Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 445 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

MP Mpuuga alayidde okuwagira ebbago ly’etteeka ku mwenge

July 13, 2017 · Mubiru Ali

Omubaka wa Munisipaali ye Masaka Mathias Mpuuga Nsamba yennyamidde embeera abavubuka ab’omulembe guno gye beeyisaamu,  nategeezza nga bw’ali omwetegefu okuwagira ebbago ly’etteeka ku mwenge n’agamba nti abavubuka bangi boonoonese nga kino siwakukikkiriza.

Mpuuga agamba nti abavubuka abandikedde okubaako kyebeekolera, bakeera kunywa mwenge kyokka nga ekyennyamiza gulimu ebika eby’enjawulo nga kino kireetedde bangi n’okugwa edddalu.

Omubaka okwogera bino abadde ku mukolo ogumu nga Gavumenti eyita mu kitongole ekitakabanira okukuuma  obutonde bw’ensi ku nnyanja Nalubaale ekya Lake Victoria Environment Project (LAVEMP)etongoza okuzimba kaabuyonjo ku myalo egiri mu disitulikiti y’e Kalungu n’ebifo ebikungaanya abantu abangi.