Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 453 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

MP Adeke ajeemedde ekiragiro kya Sipiika

July 12, 2017 · Mubiru Ali

Omubaka mu Palamenti akiikirira abaana bonna mu ggwanga Anna Adeke ajeemedde ekiragiro kya Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga bweyalagidde ababaka okwewala okwogera ku nsonga ezikwatagana n’ebbago ery’etteeka ly’ekkomo ku myaka egy’obukulu omuntu gyakomako okukulembera eggwanga 75.

Omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga Kadaga yagambye nti abantu emitima gibeewanikira bwereere kubanga ebbago eryo terinnakubwako kimunye mu Palamenti n’olwekyo abantu baalibadde ku  bintu ebirala.

Wabula okwawukana ku ebyo,  Adeke akubye olukungaana lwa bannamawulire ku Palamenti ng’ayogera ku nsonga yeemu n’agamba nti  ye akyogerako ng’omukulembeze w’abavubuka .