Breaking
News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa News: Omubaka akiikirira Nansana Municipality mu Palamenti Munnakibiina ki National Unity Platform Zambaali Bulasio Mukasa avuddeyo nasaba Gavumenti News: Minisita wAmawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi wObwakabaka, Oweek.
ON NOW Awali Omukka
Now Playing ยท 223 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM
Sports

Morocco etiisizzatiisizza obutetaba mu mpaka za CHAN

January 13, 2023 · Mubiru Ali
#SimbaSportsUpdates;
Ttiimu y’Eggwanga lya Morocco ewaliriziddwa okuva mu mpaka za CHAN ezoomwaka guno nga zino zakuyindira mu Ggwanga lya Algeria ng’entabwe evudde ku mbiranye amawanga gano gombiriri gyegalina.
Kigambibwa Eggwanga lya Algeria lyagaanye Eggwanga lya Morocco okukozesa ennyonyi eyobwannanyini ebuuka obutereevu okuva ewaabwe.
Okusalawo kwa Morocco kwalangiriddwa ngebula olunaku lumu lwokka empaka za CHAN okutandika mu Algeria. Atlas Lions babadde mu kibinja C, omuli eggwanga lya Sudan, Madagascar ne Ghana. Morocco egamba nti tebajja kwetaba mu mpaka zino okutuusa nga Algeria ebakirizza okubuusa ennyonyi yaabwe okuva mu Kibuga Rabat. Algeria yayimirizza ennyonyi za Morocco okubuukira mu bwengula bwayo okuva mu mwaka gwa 2021 era nga ne nsalo eyawula amawanga gano gombi yaggalwa mu mwaka gwa 1994.