Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 460 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

mmeeya tuyambe ku b’maggye batukuba – batuuze

January 29, 2019 · Mubiru Ali

Abatuuze b’e Kasokoso ne Kito mu Bweyogerere ne Namugongo balaajanidde Mmeeya abayambe ku Maggye agabatulugunya n’amakubo amabi okuli n’emyala.
Bano babadde munsisinkano ne Mmeeya bw’abadde alambula ebitundu byabwe ne bamulombojjera ennaku amaggye gyegabalabizza omuli okubanyaga ensimbi zaabwe mu kiro n’okubakuba emiggo ng’ente awatali busaasizi.
Bano bagambye nti essaawa buli lweziwera bbiri ez’ekiro amaggye gaba gatandise okulawuna ekitundu era nga kekakutanda n’obagwamu eyakwalula eba esiridde, singa bakusanga nga tolina ssente emiggo gy’egiramula era basabye Mmeeya Mutebi agobe amaggye mu kitundu kuba tegalina kyegayamba wabula okubabbako ebyabwe.
Bano era baamulaze n’omwala mu kira KCCA gwe yakola kyokka nga guyita mu luguudo wakati wabula nga bwebagutindululako olutindo olubagatta ku kitundu ekirala tebaluzaako nga kati tebalina kkubo libayunga ku bitundu ebirala