Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 168 listening Simba FM Live

Minisitule y’Ensonga z’ebweru eri mu kattu

May 15, 2020 · Mubiru Ali

Minisitule y’Ensonga z’ebweru eya Yuganda eri mu kattu lwakukiriza Abantu 3 okuva mu nnyumba emu okukirizibwa okukomawo mu Ggwanga okuva e Florida mu Amerika nga ate ekisaawe kyaggalwawo.
Mu bbaluwa kigambibwa nti Minisita Sam Kutesa yakiriza Barbara Kavuya, Blanche Kibaju, ne Isiah Byabashaija nga bano ba famire y’omusuubuzi omu mu Kampala Ben Kavuya.
Bano bakujja mu Ggwanga ku bbalaza wiiki ejja ku nnyonyi ya Ethiopian Airlines nga bayita mu kibuga kya Addis Ababa. Okusinziira ku Kitunzi wa Ethiopian Airlines mu Yuganda Aisha Kabwama agamba nti waliwo ennyonyi yaabwe ejja mu Yuganda ku bbalaza wabula nga eno egenda kukozesebwa kutwala Bannansi ba Canada abali mu Yuganda okubazza okwabobwe.
Wabula waliwo ebbaluwa eriko omukono gwa Director General wa Ministry of Health- Uganda Dr. Henry G. Mwebesa eraga nti bano bakugenda mu ‘quarantine’ mu Legacy Courts Plot 4 Younger Avenue e Bugoloobi. Ebbaluwa eraga nti bano balina okwevugira mu motoka eyaabwe bokka okutuuka mu kifo kino era babeere nayo okutuusa enaku 14 bwezinagwako nti era bakugibwako ‘samples’ nga bali mu ‘quarantine’