Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 732 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Minisitule y’ebyobulimi yetaaga obuwumbi obulala 16 okulwanyisa enzige

April 7, 2020 · Mubiru Ali

Minisitule y’Ebyobulimi n’obulunzi evuddeyo netegeeza nga bweyetaaga obuwumbi obulala 16 okusobola okulwanyisa ekibondo ky’enzige ekiggya ekizinzeeko Disitulikiti 3 endala mu Teso Sub-regin.Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa eri Bannamawulire kiraga nti waliwo enzige ento ezivudde e Kenya nga zayingiridde mu Disitulikiti y’e Amudat ku lw’okutaana nga 3 April – 2020. Ebibinja bibiri ebyayingidde byasasaanye mu Disitulikiti okuli; Kumi, Katakwi, Otuke ne Agago werwatuukidde olunaku olw’eggulo.Minisitule egamba nti enzige zino nto nga ziri ku mutendera weziriira ennyo nga zayalurirwa mu Kenya.Minisitule egamba nti Gavumenti yafuna obuwumbi 22 okulwanyisa enzige wabula nga bakyetaaga obuwumbi 16.18 Kabinenti bweyayisa wabula nga tezinabawebwa.