Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Minisitule y’ebyensimbi yaweereza abayizi abali e China obuwumbi 2 n’obukadde 200 mu kifo ky’obukadde 200

Minisitry y’ebyensimbi mu Ggwanga evuddeyo newandiikira Ekitebe kya Uganda mu China nga ekisaba okuzza ssente $538,200 (Shs2 billion) obuwumbi bubiri ezagiweerezebwa mu butanwa nga ezimu ku nsimbi ezaali zirina okuweebwa abayizi Bannayuganda abali e China mu Wuhan olw’ekirwadde kya COVID19 ekyabalukawo.Ebbaluwa ewandiikiddwa nga 10 – March – 2020 nga egenda eri Accounting Office, Uganda Embassy mu Beijing yateekeddwako omukono Secretary wa Treasury Keith Muhakanizi eraga ti nga 28 – Feb – 2020, Minisitule yaweereza $600,000 (Shs2.2 billion) eri Embassy ya Uganda e Beijing okuyamba ku bayizi bano wabula oluvannyuma lw’okufuna ekiwandiiko kya Cabinet bakizudde nti bali bayisizza ssente ndala ezawukana ku ezo Minisitule y’Ebyenjigiriza zeyalagira okuweereza.Wabula y’e Permanent Secretary wa Minisitule y’ebyenjigiriza Alex Kakooza agamba nti $600,000 (Shs2.2 billion) z’ensimbi zebasaba era zezayisibwa Cabinet.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort