Minisitule 9 zitutte ebiwandiiko ebijingirire mu Palamenti

Omumyuka w’omukubiriza w”olukiiko olukulu olw’eggwanga Jacob Oulanyah avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo Minisitule ez’enjawulo ezaleeta ebiwandiiko nga bijingirire eri Palamenti.
Ono agamba nti zino Minisitule ziri 9 nga kuliko; Minisitule y’ebeyobusuubuzi, amakolero n’ebibiina by’obweggasi Amelia Kyambadde, Minisitule y’ebyobulambuzi, ebitonde by’omunsiko ne mu mazzi ekulirwa Professor Ephraim Kamuntu, Minisitule y’ensonga za Ssemateeka n’ebyobulamuzi ekulirwa Maj. Gen Kahinda Otafiire, Minisitule y’ekikula ky’abantu ekulirwa Hajjat Janat Mukwaya, Minisitule ya Tekinologiya Dr. Elioda Tumwesigye, Minisitule y’ebyentambula eya Eng. Ntege Azuba, Minisitule y’ettaka n’enkulaakulana y’ebibuga eya Betty Amongi, Minisitule y’ebyobulimi n’obulunzi eya Vincent Ssempijja ne Minisitule ya Information ne ICT eya Frank Tumwebaze.
Oulanyah yewuunya engeri y’abakulembeze abali mu bifo bwebityo okulemererwa okukola emirimu gyaabwe.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
poliisi e jinja ekutte mao