Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 213 listening Simba FM Live

Minisita yetonze olw’eddwaliro eriri mu mbeera embi

June 11, 2018 · Mubiru Ali

Minisita omubeezi ow’ebyobulamu Sarah Opendi yetonze olwa gavumenti okulwawo okuddabiriza eddwaliro lye Busolwe erisangibwa e Butaleja wamu n’okuliwa ebikozesebwa. Minisita yagambye nti tebakikola mu bugenderevu wabula gavumenti terina nsimbi mu kaseera kano kuba lyetaaga ssente nnyingi.

Minisita era yasiimye abasawo olw’okukolera mu mbeera embi, eddwaliro lyazimbibwa mu 1970 ku mulembe ggwa Obote. Eddwaliro lino likzesebwa abantu abasoba mu 40,000 okuva mu disitulikiti ez’enjawulo ezirinaanye Butaleja.