Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 147 listening Simba FM Live

Minisita w’ettaka, obulimi n’obutondebwensi alambudde ebitawuluzi by’ettaka lya Kabaka

May 21, 2020 · Mubiru Ali

Minisita w’ettaka, obulimi n’obutondebwensi, Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo alambudde ebitawuluzi by’ettaka lya Kabaka mu Kyaggwe

Mu Kaweefube ono, Owek Mariam yalambudde ebitawuluzi okuli; Namyoya gombolola ya Mumyuka Nakifuma, Wangyeyo, ettaka lye Kitawuluzi ky’omuluka gwe Nnyenje, ne ku mbuga ya Mutuba IX Goma.

Enteekateeka y’okulambula Ettaka mu kyaggwe mu kiseera kino egenderedwamu okulaba abo abeesenza, abazimba n’abaagala okutwala Ettaka mu kiseera kino nga ensi eri ku Muggalo.

Mu kwogera kwe, Owek Mariam asabye obukiiko bw’ettaka mu Kyaggwe wamu n’abatuuze okukwatira awamu okutaasa ettaka lya obutatwalibwa bannakigwanyizi.
Abasabye okukolagana ne Buganda Land Board mu nsonga zonna ezikwata ku ttaka lya Kabaka.

Mu kulambula kuno Owek Mariam awerekeddwako Omwami w’essaza Ssekiboobo, olukiiko lwe Ssaza n’abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo.