Minisita w’ebyensimbi munyiivu olwa Minisitule y’amasanyalaze okulemererwa okukozesa ensimbi ezigiweebwa

Minisita Matia Kasaija alaze obweralikirivu olwa minisitule y’amasanyalaze okulemererwa okukozesa obulungi ensimbi obukadde bwa Dollar 36 ezaali ez’okubunyisa wamu n’okulaakulanya ekitongole kya masanyalaze mu ggwanga.

Minisita Kasaija yawandiikidde Minisita Irene Muloni nga alaga obutali bumativu minisitule ye gyeremereddwa okukozesa ensimbi ezagiweebwa so nga ate waliwo ebyetaaga ssente okukolebwa mu minisitule eyo nga okubunyisa amasanyalaze mu bitundu ebyatunuulirwa okusibwamu amakolero nga Kapeeka, Sukulu ne Mbale.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
‘Bobi Wine teyetaaga DP’ – Tamale Mirundi