Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 216 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Minisita Ogwang alabudde ekibiina ekitwala ba Yinginiya

January 4, 2022 · Mubiru Ali
Omubeezi wa Minsita avunaanyizibwa ku kulondoola emirimu gya Gavumenti mu Ggwanga Hon. Peter Ogwang avuddeyo nalabula ekitongole ekigatta ba Yinginiya mu Ggwanga ekya UIPE-Uganda Institution Of Professional Engineers nti kyandibadde tekyekiika mu mirimu gye gyakola.
Ekibiina ekitwala ba Yinginiya okuvaayo kidiridde Minisita Ogwang okukwata ba Yinginiya ba Disitulikiti ezenjawulo abawerako nga balangibwa okukola emirimu ye gyagamba nti gyakiboggwe wamu n’okulya enguzi.
Akulira ekibiina kyaba yinginiya Ben Kyemba kwekuvaayo nga agamba nti ebikolwa bya Minisita biwebuula omulimu gwaba Yinginiya.