Minisita Nantaba yakyatusibye – Enanga

Omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga yavuddeyo nategeeza Bannamawulire nti Omubeezi wa Minisita wa Tekinologiya Aidah Nanataba yatanaba kulabikako ku Poliisi kukola sitatimenti ye.
Enanga agamba nti Nantaba yabawandiikira ebbaluwa nabategeeza nti Omukulembeze w’Eggwanga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yamulagira obutava waka okutuusa nga amukkirizza.
Enanga yagambye nti kati bijulidde Minisita w’ensonga z’omunda mu Ggwanga Gen. Abubaker Jeje Odongo okusalawo kuki ekiba kikolebwa. Enanga yategeezezza nti bamaze dda okutekayo okusaba kwabwe nga Poliisi eri Minisita we nsonga z’omunda okuwabulwa, era bakyalinda mawulire kuva gyali olwo beeyongereyo mu maaso n’omusango guno.
Kinajjukirwa nti Minisita Nantaba ku lunaku Sebulime lw’attibwa yatemya ku Poliisi nti waliwo omuntu ali ku pikipiki amulondoola, era nga atidde nti ayinza okuba ayagala kumutta, era n’esindika basajja baayo nebawondera Ssebulime ne bamukwata ate oluvanyuma ne bamutta nga tanatusibwa ku Poliisi ye Naggalama.
Enanga agamba nti singa Minisita akkiriza okukola sitatimenti ejja kuyamba nnyo mu kunonyereza kwe baliko okuzuula amazima agaaliwo ku lunaku olwo.
Ku ky’okugenda mu maka ga Nantaba okumujjako sitatimenti, Enanga yagambye ekyo tekisoboka kubanga tekiri mu mpisa z’a Poliisi mwekolera emirimu gyayo

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Leero mu byafaayo.