Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 306 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Minisita Nakiwala wesonyiwe Fresh Kid – Babaka

April 1, 2019 · Mubiru Ali

Abamu ku babaka ba Palamenti abatuula ku kakiiko ka Bavubka n’abaana bavuddeyo nebasaba Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa kunsoga z’abavubuka n’abaana Nakiwala Kiyingi aveeyo afune ekyokukola nga okufunira abavubuka obuyambi wamu n’okuyamba abo abatayaaya kunguudo okusinga okulemesa omwana omuto avuddeyo yeyiiye nga ayimba.
Bano nga bakulemdeddwamu omubaka akiikirira Abavubuka mu Ggwanga lyonna Ann Adeke, MwineMpaka akiikirira Abavubuka be buggwanjuba wamu n’omubaka wa Kasambya County Gaffa Mbwatekamwa bawakanyizza ekya Minisita okwagala okusiba Patrick Ssenyonjo Aka Fresh Kid UG singa analemera kukuyimba.
Omubaka Mbwatekamwa era avuddeyo nategeeza nga bwagenda okuteeka ssente mu Fresh Kid UG asobole okukola ennyimba endala asobola okukuza ekitone kye. Ye Mwine Mpaka avuddeyo neyewuunya Minisita okugezaako okulemesa omwana omuto afunye ekyokukola songa mu ggwanga temuli mirimu.
Ye Adeke asabye Minisita aveeyo ayambe omwana ono okukuuma ekitone kye wamu n’okumuyamba ku banyunyusi abayinza okukozesa ekitone kye okwekusa bokka nabokka nga okumuyamba mu kuteekawo endagaano. Era ono agamba nti Fresh Kid nga ayambiddwa asobola bulungi okusoma nga bwayimba.