Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 230 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Minisita Naduli atadde akaka ku bakungu ba Gavumenti abaagala okulya obuli

July 3, 2017 · Mubiru Ali

Minisita owa guno naguli,  Al Haji Abdul Naduli avumiridde nga kwossa n’okwambalira abakungu ba Gavumenti eya wakati abaagala obwagazi okulya  okusinga okukolera abantu . 

Nadduli okwogera bino abadde atongoza ekidiba ky’amazzi mu ggombolola y’e Makulubita mu Disitulikiti y’e Luweero okuyamba abalimi okufuna amazzi agafukirira ebirime .

Asinzidde wano n’asaba abantu okwettanira obulunzi nti lwebajja okweggya  mu bwavu era nga enteekateeka eno ekulembeddwamu ekibiina ekitaba ekkanisa z’abalokole mu ggwanga ekikulemberwa Bishop Joshua Lwela.

Ye Ssentebe w’ekyalo Kangave ekiri  mu Disitulikiti y’e Luweero Lutaaya Yusuf agamba nti babadde basanga obuzibu bwamaanyi olwekyeeya ekibalumba entakera era amazzi go babadde bageetaagira ddala .

Bishop Joshua Lwela agamba nti baakutandika n’amaka agasukka mu kikumi okusobola okutumbula eby’obulimi mu Disitulikiti yonna ey’e  Luweero.